Amb. Rosa Marango nga alambuzibwa Library ya Buganda.Amb. Rosa Marango nga alambuzibwa Library ya Buganda.

Obwakaabaka bwa buganda nga buli wamu nekitongole ekivunanyizibwa ku by’obulambuuzi mu buganda ki Buganda Heritage and Tourism Board (BHTB) nga kikulembedwamu ssenkulu wakyo Nsubuga Najib beyamye okukolagana awamu ne Ambassador w’ekitongole ky’ensi yonna (UN) Rosa Marango okulaba nga bongera okutumbula ebyobulambuzi mu nsi yabeene.

Munsisinkano gyebubaddemu nomubaka ono ku kitebe kya BHTB e mengo, Nsubuga agamba nti bakussa essira okumanyisa wamu n’okwagazisa abantu eby’obulambuuzi bya Buganda.

Nsubuga Najib nga awayo ekirabo ky’ekitabo ekirimu ku bimu eby’afaayo bya Buganda.

Nsubuga agamba nga bayitira ku butambi obwenjawulo bakutandika ku lugendo lw’abajjulizi kuba bangi babadde balwogerako ekifula nnenge ekintu ekibadde kiwabizza nnyo abantu.

Ambassador Rosa Marango atendereza eby’obulambuzi bya Buganda era nga munsisinkaano eno agamba nga bwebalina okulabamu engeri y’okuvumbulamu eby’afaayo bya Buganda wamu n’okubyagazisa abantu nga bayitira mu ntekateeka ez’enjawulo.

Amb. Rosa Marango nga alambuzibwa ekifo Idi Amin weyatulugunyizanga abantu.

Malango agamba nti bakulambula eby’obulambuuzi bya Buganda eby’enjawulo okutukira ddala mu mwezi gw’omukaaga era bwatyo nakikatiriza nga eby’obulambuzi bwebiri eby’enkizo ennyo mu ggwanga ne mu Buganda.

Nsubuga agamba nti basanyuffu nnyo okukyaaza ambassador Malango okwongera okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga era nga ensisinkano ye eno kwekulaba butya obw’akabaka gyebulina okwongera okutumbulamu ebyobulambuuzi nga buli naye.

Amb. Rosa Marango nga alambuzibwa gallery ya Buganda.

Nsubuga agamba nti nga ekitongole basanyukidde nnyo ebilubirirwa bya ambassador ono nga ebimu ku bino kwekulaba engeri y’okunyumyamu emboozi za Buganda nga bakusooka n’olugendo lw’abajjulizi ba Uganda.

BHTB egamba nga bweri eneteffuteeffu okulaba nga bakwataganira wamu ne ambassador ono era nga ebilowoozo ebibawereddwa nga ekitongole bagenda kubiganyulwamu singa babera babitadde mu nkola/

Mathiew Nabwiso nga ono muzannyi wa film era nga y’omu kubrtabye mu nsisinkano eno agamba nti bogerezeganyiza naba BHTB kungeri gyebalina okumanyisamu abantu ku ngero za Buganda nga bazogerako wamu nokwogera ku by’obuwangwa ne nnono bya buganda nga babyagazisa abantu.

Nabwiso agamba nti bakwogerezeganya ne BHTB okusobola okuwebwa engero zebalina okukozesa nga bazannya film zabwe nga bakwanguyizibwa kati era neyebaza enkolagana eno gyebatandiisewo.

Bya; Mukose Arnold Anthony

By Alternative Uganda

The Alternative Uganda born by The Jobless brotherhood in June 2014, We're a non-partisan/non-violent Social Movement whose aim is to see a youth led change. Creating Tomorrow Today: This-Is-Us . We're based in Kampala Uganda, East Africa an established NOT-FOR PROFIT online Media Platform under Alternative Digitalk, also known as Digitalk TV. We offer space to the barred, unheard, marginalized and vulnerable voices . Digitalk Tv; Real Issues, Real Talk.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *