Olukiiko lwa Buganda lulina abataka okuva mu bika 52 okuli n’omwemyaka omwenda (9), n’Omutaka Kalibbala George Nsozi akulira ab’Ensenene.
Mukadde kano, olukiiko luno lukubirizibwa Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba nga ono yakulira ekika ky’ekkobe
Bibino ebitonotono ku mutaka akyasiinze obuto ku lukiiko lwa Buganda.
Omutaka George Nsozi Kalibbala (9), ye mukulu w’ekika ky’Enseenene era nga ye mutaka asiinga obuto ku lukiiko luno.
Ku myaka gye emito ennyo, ono ayitibwa Jjaja kuba buli wa kika kya Nsenene abera muzukulu we nga nekitaawe mwomutwalidde.
Agenda kuweza emyaaka kumi (10) nga bbiri (2) omwezi gwa Mutunda (Septermber), 2025.

Omutaka Kalibbala yazalibwa omwami, George Ssendawula n’omukyaala Nannono Rashidah.
Nga tanafuuka mukulu wakiki kino, yaweebwa abakuza era nga nabuli kati b’ebamulungamya ku nsonga z’ennono, obuwanggwa, obulombolombo, obuntu bulamu, empisa n’olulimi, eby’ensi ye Buganda.
Kuno kuliko; Omutaka Kayiira Gajuule Kasibante, akulira ab’embogo, Omutaka Mbugeramula Kasirye Kyadondo akulira ekika ky’envuma, Omutaka Ddungu Kireega – Katikkiro w’Empologoma, Kawalya Nelson ne Kaberenge Jjingo Mark nga ono yakulira essaza ly’ebusujju.
Ono yaddira mu bigere by’omubuze Kalibbala George eyaterekebwa mu fuuti 15 era nga yagenda n’embuggo ezisoba mu 110, nga ono yabula.
Bya Mukose Arnold Anthony.